Sunday, May 5, 2013

EBYASALIBWAWO EBY’AMAANYI MU LUKIIKO LW’OBUSAABADIIKONI OLUTUDDE KU ST. APOLLO KIVEBULAAYA NAMUSABA PARISH NGA 4 MAY 2013


MENGO ARCHDEACONRY COUNCIL- NAMIREMBE DIOCESE

EBYASALIBWAWO EBY’AMAANYI MU LUKIIKO LW’OBUSAABADIIKONI OLUTUDDE KU ST. APOLLO KIVEBULAAYA NAMUSABA PARISH NGA 4 MAY 2013

Archdeacon Ven. John Gitta Kavuma nga aggulawo olukiiko okuva ku kkono, Rev. Buwembo (Omuwandiisi), Rev. Kezekiah Kaweesa (Ass. Ssaabadiikoni) Mrs. Margaret Magumba (Omukubiriza) ne Eng. David Waiswa (Omuwanika)


  1. Ku nnyumba ya Ssaabadiikoni, kisaliddwawo amakanisa wonna mu Busaabadiikoni abatannamalayo ssente ezaabasalirwa olw’okumaliriza ennyumba y’obwassabadiikoni zimalibweyo obutasukka nga 30 September 2013.
  2. Kisaliddwawo nti mu bbanga lya wiiki 3, enteekateeka y’okumalayo ensimbi ezo ebeere nga etuusiddwa mu ofiisi ya Ssaabadiikoni n’eri Omukubiriza w’obusaabadiikoni.
  3. Kisembeddwa enteekateeka y’ababuulizi okutandikawo project eddeyo mu lukiiko lwabwe eruŋŋamizibwe bulungi era eteekebwe mu kyapa ekomezebwewo mu Lukiiko lwaffe olunaddako.
  4. Kisaliddwawo ku Tegula Project ababaka nga bayambibwako abasumba baddeyo bateeketeeke abakulisitaayo olw’okwaniriza ttiimu ya Ttegula project bwerijja okulondoola okuwaayo kwaffe ku mulimu ogwo wetutuuse n’okutema empenda okulaba nga emitemwa giggwayo.
  5. kisembeddwa amannya g’abakebezi abaalondebwa gaweerezebwe ku Busaabadiikoni
v     Kisembeddwa nti abo bonna abaweerezza okumala ebbanga erisukka mu eryo ssemateeka lyakkiriza, bawandiikirwe era beebazibwe olw’obuweereza bwabwe obulungi
v     Kiseembeddwa nti Nomination sheets zitegekebwe ezirambika omuntu asaanidde okuweereza n’ebbanga lyalina okuddamu okulondebwa mu kifo kye kimu, kikakate wonna era kigobererwe.
v     Kisembeddwa nti abasumba n’ababaka wamu n’ababuulizi boongere amaanyi mu kuluŋŋamya ennonda entuufu ey’abakulembeze n’abakebezi mu kanisa.

  1. Kisembeddwa Obusaabadiikoni bwaffe butongoze okubeeranga ne Convention emirundi ebiri buli mwaka.
v     Abantu bana baalondeddwa okulondoola ensonga eno era n’okuteekateeka  nga kuliko 1. Rev. George Ninye, 2. Mrs. Margaret Kitanda 3. Omubuulizi Christopher Lukenge 4. Mr. Wilberforce Naigambi

  1. Kisembeddwa akakiiko kano wammanga beetegereze ebikoleddwa Obusumba/Amakanisa ku nsonga ya Decade of Mission era kayukolere alipoota ku nsonga eyo. Akakiiko kuliko; 1. Rev. George Ninye 2. Mrs. Margaret Kitanda 3. Omubuulizi Christopher Lukenge 4. Mr. Wilberforce Naigambi
  2. Kisembeddwa akakiiko kalondebwe okugendae Ndejje okukebera byonna ebyetaagisa olw’okwawula  ekkanisa eyo n’okusimbako ejjinja Omulabirizi bwakikyalira Obusumba bw’e Kabowa. Era kyasembebwa nti alipoota eyo etuuke mu ofiisi ya Ssaabadiikoni mu bbanga lya wiiki bbiri.
  3. Kisembeddwa ab’e Ndejje batandike okuteekateeka okuweebwa Obusumba era akakiiko akalondeddwa kongere okwetegereza ebyo ebiri e Ndejje n’okubaluŋŋamya ku byetaagisa. Alipoota etuuke mu ofiisi ya Ssaabadiikoni obutasukka bbanga lya wiiki bbiri. Akakiiko kuliko 1. Rev. William Kiwanuka, 2. Mr. Samuel Lukyamuzi (Ssentebe) 3. Mrs. Margaret Kitanda 4. Rev. George Ninye 5. Mrs. Margaret Magumba 6. Mrs. Milly Masembe 7. Mr. Wilber Naigambi
  4. Kisaliddwawo ey’okuyisa pulaani y’ekkanisa y’e Bbongole biyimirizibwe era waloondebwewo akakiiko akabakugu kagende keetegereze ekifo ky’e Bongole. Ku kakiiko kuliko 1. Mw. Christopher Sserunkuuma, 2. Eng. Jack Mayamba 3. Mrs. Margaret Kawumi, 4. Eng David Waiswa 5. Mrs. Margaret Kitanda.
  5. Kisembeddwa nti akakiiko kano bwekeetegereza eby’e Bongole nga biyita mu mitendera egyebyetaagisa, batuuke ewa Ssaabadiikoni biweerezebwe mu lukiiko lw’obulabirizi.
  6. Kisaliddwawo n’okuva kaakano akakiiko akaliko abantu bano wammanga 1. Mr. Sserunkuuma 2. Eng. Jack Mayamba 3. Eng. David Waiswa 4. Mrs. Margaret Kitanda 5. Mrs. Margaret Kawumi, batukolere omulimu gwe gumu ogunaleetebwa amakanisa ng’ebiri e Bongole
  7. Kisembeddwa akakiiko ako waggulu kagende ku kanisa y’e Lubowa keetegereze byonna ebyetaagisa olw’okuzimba ekanisa empya era kakole alipoota eriyanjulirwa olukiiko luno.
  8.  Kisembeddwa akakiiko ka Mw. Lukyamuzi kagende e Kanaaba keetegereze oba nga byonna ebyetaagisa  olw’okusimba ejjinja n’okwawula ekkanisa y’e Kanaaba bituukiriziddwa era kategeeze Ssaabadiikoni ne alipoota tugifune mu lukiiko oluddako.
  9. Kisembeddwa obusumba bw’e Kibiri buwandiikirwe nga bwebaazibwa olw’okulinnya mu kuwaayo endobolo ku Busaabadiikoni.
  10. Olukiiko lukkirizza n’okusiima enteekateeka y’obusumba bw’e Masajja okusasula ensimbi ezibanjibwa ku ndobolo y’omwaka 2012.
  11. Kisembeddwa embalirira  y’omwaka 2013-14 eyisibwe era essibwe mu nkola.
  12. Kisaliddwawo master plans z’amakanisa n’obusumba bireetebwe mu lukiiko oluliddako (Abasumba n’omukulu wa Planning be bavunaanyizibwa)
  13. Kisembeddwa akakiiko ka Munyonyo akakulemberwa Mw. Lukyamuzi  katuule katukolere ebyo ebyetaagisa okufuna obwa nnanyini ku kifo kino n’enteekateeka ya Musa Mukasa ey’omwaka guno esuubirwa okuleeta Katikkiro wa Buganda tumwanjulire byetusuubira okukoleranga mu kifo kino mu alipoota y’omukubiriza gyalisoma ku lunaku olwo.

Biteekeddwako omukono olwaleero nga 4th May 2013



…………………………..      …………………………………        ……………………………
Ven. John Gitta Kavuma      Rev. G. Buwembo                             Mr. Hannington Sebuliba
Ssentebe                              Omuwandiisi                                               Omuwandiisi

Bamemba ba Archdeaconry Council nga bateesa mu Kanisa e Namasuba

http://namirembediocese.org/welcome/archdeaconries.php?sp=Archdeaconries%20|%20Mengo&&ps=m

No comments:

Post a Comment

Powered By Blogger